Omulamuzi wa kkooti enkulu e Mukono Susan Okalanyi, asalidde omukyala Jackeline Nakku myaka 27 okusibwa emyaka 20 mu kkomera e Luzira ku misango gy’okutta bba Eric Kiddu Ssenyonjo.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Agnes Kiconco, Nakku nga mutuuze ku kyalo Nabuti mu ggoombolola y’e Mukono yatta bba Ssenyonjo eyali omukozi ku Hotel Africana nga 14, Ogw’okubiri, 2018.
Omulambo gwa Ssenyonjo gwasangibwa mu kitaba ky’omusaayi mu kisenge kyabwe nga gujjudde ebiwuundu ku mutwe era kigambibwa nti omukyala Nakku, yasobola okweyambisa akatayimbwa okutta bba.

Kiconco agamba nti Nakku yali ateebereza bba okwagala omukyala omulala eyali omukozi mu kitongole ekya UMEME.
Omulamuzi Okalanyi agambye nti obujjulizi obuleeteddwa mu kkooti bulaga nti Nakku, yatta bba kyokka oluvanyuma kwe kudduukira mu baneyiba okusaba obuyambi n’okubategeeza nti balumbiddwa abatemu ne batta bba Ssenyonjo ssaako n’okutwala ebintu byabwe.

Omulamuzi Okalanyi era agambye nti asibye Nakku emyaka 20 okubeera eky’okulabirako eri abakyala abalala mu ggwanga okukomya okutwalira amateeka mu ngalo.