Omubaka wa Uganda mu Burundi, munnamagye eyagannyuka Maj. Gen. Matayo Kyaligonza asambazze ebize biyitingana ku mikutu gy’ebyempuliziganya nga bwatagende kugenda mu kkooti.
Maj. Gen. Kyaligonza avunaanibwa omusango gw’okukuba muserikale wa Poliisi y’ebidduka bwe yali agezaako okumulungamya.
Kyaligonza nga ayita mu bapuliida be aba Balondemu and Company Advocates, agamba nti zino ntalo zaabo abatamwagaliza era omuntu waabwe essaawa yonna wakugenda mu kkooti kuba tali waggulu w’amateeka.

Bannamateeka ba Kyaligonza
Bannamateeka ba Kyaligonza

Mu Febuary wa 2019 , emikutu gya ‘social media’ gyasasaanirako ebifaananyi ebyalaga Kyaligonza ng’ali n’abakuumi be okwali; Peter Bushindiki ne John Okurut nga bakaayukira omuserikale wa tulafiki; Esther Namaganda eyali ku mirimu gye e Seeta ng’abanenya okumenya amateeka g’ebidduka.
Sabiti ewedde, Omulamuzi wa kkooti e Mukono Juliet Hatanga yazzeemu okuyisa ekibaluwa kibakuntumye eri Kyaligonza okukwatibwa aleetebwe mu kkooti ku musango gw’okukuba ofiisa wa poliisi Namaganda.
Omulamuzi okuyisa ekibaluwa, kiddiride munnamagye ono okwebulankanya enfunda eziwera okweyanjula mu kkooti ng’asindikayo ba puliida nga bakulembeddwamu Caleb Alaka.