Frank Gashumba owa Sisimuka Uganda atabukidde abaana abawala abegumbulidde omuze gw’okusindikira abaana abalenzi ebifaananyi nga bali bukunya.

Gashumba agamba nti abawala nga Martha Kay okusindikira omulenzi ebifaananyi, kikolwa kya busiru, bugwagwa kuba kiswaza abakyala bonna.

Mungeri y’emu agambye nti ekyewunyisa abaana abawala abasindika ebifaananyi nga bali bukunya bonna baasoma kyokka bakola ebintu by’ekisiru ate ebiswaza ekitiibwa kyabwe.

Gashumba awadde abaana abawala amagezi okuwa abazadde baabwe ekitiibwa kuba singa ebifaananyi byabwe bifulumizibwa nga bali bukunya, famire yonna ekosebwa.

Vidiyo ya Gashumba