Ebigambo bya Frank Gashumba ku bawala abasindika ebifaananyi eri baganzi baabwe nga bali bukunya byongedde okutiisa abantu ab’enjawulo omuli ne muwala we Sheilah Gashumba.

Gashumba agamba nti omuwala yenna okusindikira omulenzi ebifaananyi ng’ali bukunya, kikolwa kya busiru, bugwagwa, batooletoole kuba kiswaza abakyala bonna.

Mungeri y’emu Gashumba agamba nti ekyewunyisa nti abawala abasindika ebifaananyi nga bali bukunya bonna baasoma kyokka bakola ebintu by’ekisiru ebiswaza ne famire zaabwe.

Frank Gashumba musajja muzadde era ebigambo bye, birina okutwalibwa nga bikulu nnyo eri abawala bonna wabula ekyebuuzibwa muwala we Sheilah Gashumba afunamu eky’okuyiga?.

Ebigambo bye, biraga nti wadde Sheilah ali mu laavu ne Ali Lwanga amanyikiddwa nga God’s Plan alina okuba okwegendereza ennyo okwewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okuswaza kitaawe Gashumba.

Singa ebifaananyi bifuluma Sheilah ali bukunya, agenda kuswaza nnyo kitaawe Frank Gashumba kuba bambi akoze omulimu gwe okubulirira abaana abawala.

Sheilah yayita ekigezo ekisooka, okufuna omulenzi God’s Plan alina ku ssente kuba kitaawe Gashumba takiriziganya na mwana muwala yenna okufuna omulenzi nga mwavu.

Mu kiseera kino ekibuuzo kiri nti, Sheilah Gashumba agwanidde okwesiga God’s Plan, kuba ayinza okumuswaza nafulumya ebifaananyi ng’ali bukunya?