Abavubuka abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu nga bakulembeddwamu Nnalulungi wa Ssemazinga wa Afrika Quinn Abenakyo basabye sipiika wa Palamenti, oluyimba lwa Shafik Walukagga amanyikiddwa nga Fik Fameika, “My Woman my Property” okuwerebwa mu Uganda.

Quinn Abenakyo ne Kadaga
Quinn Abenakyo ne Kadaga

Abavubuka n’okusingira ddala abawala bagamba nti oluyimba olwo mulimu ebigambo ebityoboola ekitiibwa ky’abakazi okugamba nti abakazi chapati, yogati, “chapatti and yoghurt” era basabye sipiika Kadaga oluyimba luyimirizibwe mbagirawo ku Laadiyo, Ttivi n’ebivvulu byonna.

Abavubuka abasabye Kadaga okuyimiriza oluyimba lwa Fik Fameika bavudde mu bitundu omuli Kamuli, Buyende, Tororo, Lira, Adjumani, Yumbe n’ebitundu ebirala.

Sipiika Kadaga asuubiza okunoonyereza ku nsonga zaabwe n’okwegata awamu okulwanyisa ebikolobero byonna ebityoboola ekitiibwa ky’abakyala n’okulemesa abaana abawala okusoma.