Kyaddaki Zari Hassan abikudde ekyama lwaki ali mu laavu n’omusajja omulala ye gw’ayita Mr M.

Zari ku myaka 38 alina abaana bataano (5) okuva mu basajja babiri (2) okuli omugenzi Ivan Semwanga eyafa nga 25, May, 2017 gwe yazaalira abaana basatu (3) n’omuyimbi Diamond Platnumz abaana babiri (2).

Mu 2018, Zari yayawukana ne Platnumz era bangi ku bantu mu East Africa bewuunya omukyala omukulu okunoba kuba kizibu nnyo okuddamu okufuna omusajja omulala ku myaka ggye n’omuwendo gw’abaana gw’alina.

Wabula Zari agamba nti MR M wadde musajja mugagga nnyo, tamwagala lwa ssente n’ebintu byamuwa.

Agamba nti MR M alina omutima omulungi, embeera ze nnungi, amuwa omukwano n’okumwagalira abaana.

Mungeri y’emu Zari agamba nti MR M alina amaaso era alaba abawala abato kyokka okusalawo okumwagala ku myaka 38 n’abaana be  5, kye bayita okwagala omuntu ne by’alina, “5 kids, but you still found me the sexiest woman alive. Wooooo ain’t I so blessed🙏. I love you so much Mr M, it’s not the material things you shower me with, I’ve seen those and even bigger and better. But, its you, your heart, your whole being and how you make me and my kids feel. It takes alot of courage from YOU Mr M. 5kids, 38, wow….. you Heaven sent babe, That said, I end here! I l you M“.