Omukyala Zari Hassan alaze nti mu nsi, talina musajja yenna alina buvunanyizibwa ku baana be.

Zari ku myaka 38, alina abaana 5, 3 yabazaala mu mugenzi Ivan Ssemwanga ate 2 mu muyimbi Diamond Platnumz.

Olunnaku olw’eggulo ku Ssande nga 16, June, lwabadde lunnaku lwa bataata mu nsi yonna kyokka Zari yasobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okukola ekintu ekyewunyisiza abantu ab’enjawulo.

Zari wadde mukyala, yeeyagaliza olunnaku lwa bataata, “Happy Father’s Day to me”, ekiraga nti wadde alina abaana ba Platnumz, akola buli kimu okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwa taata kuba Platnumz alemeddwa okukola omulimu gwe nga taata wadde baayawukana era yabadde talina nsonga yonna lwaki amuyozayoza okutuuka ku lunnaku lwa bataata.

Tanasha ne Diamond Platnumz
Tanasha ne Diamond Platnumz

Agava mu ggwanga erya Kenya galaga nti muganzi wa Platnumz, Tanasha Donna ali lubuto kyokka ebigambo bya Zari okulaga nti naye yaliko mu laavu ne Platnumz kyokka oluvanyuma lw’okumuzaalamu abaana yakyuka n’okutandika obwenzi, Tanasha ali mu kutya nti naye kiyinza okumutukako.

View this post on Instagram

Happy Father's Day to me👊

A post shared by Zarithebosslady (@zarithebosslady) on