Kyabazinga wa Busoga William Gabula Nadiope IV asiimye abantu be, abakoze nnyo okutumbula n’okukuuma ekitiibwa kya Busoga ssaako n’okukyusa embeera z’abantu.

Ku mukolo ogubadde ku kisaawe e Bugembe, gwetabiddwako abantu bangi ddala era ebitiibwa byasengekeddwa mu biti bisatu omuli Omwoyo Gwa Busoga, Eninha ya Kiira ne Omwoyo Gwa Busoga.

Omuddaali gwa Eninha ya Kiira guweereddwa abantu abakoze nnyo okukuuma ekitiibwa kya Busoga, omuddaali ogwa Sir William Wilberforce Gabula Nadiope II, abantu abakoze ennyo okukyusa obulamu bw’abantu mu bitundu bya Busoga ate omuddaali ogwa Omwoyo Gwa Busoga, abantu abakoze nnyo okuba eky’okulabirako mu bitundu bya Busoga, okukuuma obutonde, okunyweza ennono n’obuwangwa bwa Busoga.

Abafunye emiddaali kuliko

1- Patrick J Mwondha (Omwoyo Gwa Busoga)

2. Abasoga Nseete, Omwoyo Gwa Busoga

3.Keith Mutengu, (Omwoyo Gwa Busoga)

4.Eng F G Mulyagonja, ( Omwooyo gwa Busoga)

5.Arthur W Musulube,(Eninha ya Kiira)

6 – Quiin Abenakyo,(Eninha ya Kiira)

7.His Lordship Samuel William Waako Wambuzi,(Eninha ya Kiira)

8.Sheik Dactoor Abdu Qadir Muwaya, (Sir W Gabula Nadiope II)

9.Owek Daudi Kintu Mutekanga, (Sir W Gabula Nadiope II)

10 – Owek Yekonia Menhya Kibedi Zirabamuzale Kyedumira, (Sir W Gabula Nadiope II)

11 – Rt Rev Bishop Dr Cyprian K Bamwoze, (Sir WWGN II)

12 – HE Specioza Naigaga Ohtana ekyeru Wandira ,(SWW GN II)

13 – Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga (Sir WW GABULA NADIOPE II) .