Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Stella Amabiris azzeemu okusindika ku limanda Omutegesi w’ebivvulu Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo owa Bajjo Events okutuusa nga 5, July, 2019.

Sabiti ewedde, omulamuzi y’omu yasindika Bajjo ku limanda mu kkomera e Luzira ku misango ebiri okuli ogw’okukuma omuliro mu bantu n’okwogera ebigambo ebigendereddwamu okunyiiza omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni (offensive communication).

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Bajjo yakuma mu bantu omuliro mu bitundu bya Kampala, Masaka ne Mbarara ng’ayita mu katambi ke yateeka ku mutimbagano gwa yintanenti omuli Face Book.

Enkya ya leero aleteddwa mu kkooti okusaba okweyimirirwa, era aleese abantu basatu (3) omuli Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex, munna DP Moses Bigirwa ne Aloysius Matovu Junior.

Wabula oludda oluwaabi lusabye omulamuzi obutakiriza Bajjo okweyimirirwa kuba singa kikolebwa, ayinza okuddamu okutataaganya eddembe ly’omukulembeze w’eggwanga ate nga ye mujjulizi yekka gwe balina.

Mungeri y’emu bagambye nti n’ebiwandiiko by’abantu abaleteddwa okutaasa Bajjo okumuggya mu kkomera tebikwatagana.