Mu nsi y’omukwano, buli muntu alina okunoonya omwagalwa ng’amuwa essanyu mu mbeera yonna.

Mu kiseera kino, amawulire agava mu mikwano gy’omuyimbi Weasel Manizo galaga nti mukwano gwabwe azzeemu okufuna omukyala omulala okukyusa ku musaayi.

Kigambibwa Weasel ali mu laavu n’omuwala Sandra Teta eyali Nnalulungi w’eggwanga erya Rwanda era mbu ku wikendi omuwala yategekedde Weasel akabaga mu kifo ekimu ekisanyukirwamu ku Lugogo bypass.

Weasel wadde alina omukyala n’abaana, kigambibwa ye ne Teta baludde nga beeyagala era mbu Weasel amukubye amatooke emirundi ez’enjawulo.