Eyali Nnalulungi wa Gambia mu 2015 Fatou Jallow myaka 23 akawangamudde bw’ategeezeza nti eyali omukulembeze w’eggwanga eryo Yahya Abdul-Aziz Jemus Junkung Jammeh myaka 54 yamukwatira mu woofisi ye mu kiseera ng’ayitiddwa okumusisinkana.

Jallow agamba nti Jammeh yalina amaddu ng’aswakidde era yagezaako okumulemesa ng’ayinza okumutusaako obulabe singa agezaako okumulemesa akaboozi.

  Yahya Jammeh

Yahya Jammeh

Bw’abadde awa obujjulizi bwe mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu obugenda okweyambisibwa singa Jammeh atwalibwa mu kkooti y’ensi yonna, agambye nti Jammeh kye yamutusaako tayiinza ku kyerabira.

Jammeh mu kiseera kino ali mu ggwanga erya Equatorial Guinea gye yaduukira, oluvanyuma lw’okugibwa mu buyinza mu 2017.

Ekifaananyi kya BBC AFRICA