Kkooti ejjulirwamu yejjereza Nnamwandu wa Kasiwukira, Sarah Nabikolo ku misango gy’okutta bba Eria Ssebunya Bugembe eyali amanyiddwa nga Kasiwukira.
Kasiwukira yatomerwa emmotoka eyamuttirawo nga 17, October, 2014 bwe yali akedde ku makya okukola dduyiro, okumpi n’amakaage e Muyenga.
Mu 2016, kkooti enkulu mu Kampala, yasindika mu kkomera e Luzira muganda wa Nabikolo, Sandra Nakungu n’omusirikale Jayden Ashiraf okusibwa emyaka 20 ku misango gy’okutta Kasiwukira kyokka Nnamwandu Nabikolo yajjerezebwa.
Omulamuzi Wilson Masalu Musene yategeeza nti oludda oluwaabi lwalemwa okuleeta obujjulizi, obulaga nti Nnamwandu Nabikolo yenyigira mu kutta bba.
Embeera eyo, yavirako oludda oluwaabi okuddukira mu kkooti ejjulirwamu okuwakanya eky’okwejjereza Nnamwandu wa Kasiwukira.
Wabula enkya ya leero, abalamuzi 3 okuli Elizabeth Musoke, Hellen Obura ne Ezekiel Muhanguzi bawadde ensala yaabwe era bagambye nti, oludda oluwaabi lwalemwa okuleeta obujjulizi, obulaga nti Nnamwandu wa Kasiwukira yenyigira mu kutta bba.
Ensalawo y’abalamuzi esomeddwa, omuwandiisi wa kkooti Jesse Byaruhanga era bakiriziganyiza ne ky’omulamuzi Musene nti Nabikolo talina musango ku by’okutta bba.
Kkooti yasalawo nti emmotoka eyatta Kasiwukira ekika kya Pajero kyazuulibwa nti yali yamulamu we Nakkungu nga yali evugibwa omusirikale Jayden abali e Luzira okumala emyaka 20.