Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Elizabeth Kabanda asindise omusajja mu kkomera e Luzira okusibwa emyaka 47 ku misango gy’okubba nga yeyambisa amaanyi agasukkiridde.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga 18, September, 2016, Ssemanda myaka 37 ng’ali ne banne abakyalira ensiko, baapangisa John Bosco Ssenyondo okubatwala e Kabojja nga befudde abantu abetaaga obuyambi abagenda okukima omulwadde.

Wabula webatuuka mu kkubo, kwekudda ku Ssenyondo okutuga nga bagala okumutta nga beyambisa omuguwa n’okutwala emmotoka ye ekika kya Ipsum.

Mu kkooti, omulamuzi Kabanda agambye nti afunye obujjulizi obutalimu kubusabuusa kwona nti Ssemanda ne banne  abaliira ku nsiko balina ekigendererwa eky’okubba n’okutta omuntu.

Abamu ku bajjulizi abalumiriza Ssemanda mu kkooti, ye Ssenyondo eyasimattuka okuttibwa eyali apangisiddwa okubatwala.

Omulamuzi agambye nti okusiba Ssemanda emyaka 47 kikoleddwa, okutangira abantu okwenyigira mu kubba n’okusomesa abantu obulabe obuli mu kwenyigira mu bikolobero.