Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Lydia Mugambe alangiridde nga 1, August, 2019 okuwa ensala ye oba abavunaanibwa omunaana (8) ku by’okutta eyali omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi bakirizibwa okweyimirirwa.

Abavunaanibwa abali ku limanda mu kkomera e Luzira kuliko Bruhan Balyejusa amanyikiddwa nga Jimmy Masiga Ogutu, Joshua Magezi Kyambadde amanyikiddwa nga Abdu Rahman, Jibril Kalyango amanyikiddwa nga Abu Aisha, Yusuf Siraje Nyanzi amanyikiddwa nga Jimmy Ssentamu, Shafik Kasujja n’abalala.

Omulamuzi Mugambe yabadde asuubirwa okuwa ensala ye olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu kyokka yabadde taliwo ng’alina omusomo (workshop) gw’agenzemu.

Kaweesi yattibwa March 17, 2017 e Kulambiro bwe yali ava ewuwe ng’agenda ku mirimu gye, yattibwa ne ddereeva we, Godfrey Mambewa n’omukuumi Kenneth Erau.

Abazigu abaali batambulira ku pikipiki baabasindirira amasasi agaabattirawo.

Abantu bangi abaakwatibwa mu ttemu lino ne basimbibwa mu maaso g’omulamuzi w’eddala erisooka Noah Ssajjabbi e Nakawa, munaana ku bbo n’abasindika mu kkooti enkulu.

Kaweesi yattibwa nga Gen Kale Kayihura y’adduumira Poliisi mu ggwanga kyokka oluvanyuma yakyusibwa mu nkyukakyuka ezakolebwa omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni nga 5 March 2018, nasikizibwa Martin Okoth Ochola.