Poliisi ezudde ebipya ku John Bosco Mugisha ku by’okutuga aba bodaboda, okubatta n’okutwala Pikipiki zaabwe.

Mugisha yakkirizza nti y’alabikira mu katambi era n’ategeeza abaserikale nti ye yatuga Derick Mulindwa myaka 20 e Kakyeka mu divizoni y’e Rubaga era oluvannyuma munne gwe yayogeddeko nti, yeekazaako erya Mulo Young (atali muyimbi) n’akuba Mulindwa ekyuma ku mutwe n’amumaliriza era pikipiki ne bagitwala.

Mugisha yakwattiddwa ekkiro ky’olunnaku olw’okubiri ku kyalo Nsike 1, Ndeeba mu Divizoni y’e Rubaga kyokka mukwano gwe Mulo Young yattibwa mu bitundu bye Makindye oluvanyuma lw’okubba bodaboda mu bitundu bye Mityana.

Patrick Onyango
Patrick Onyango

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, Mugisha akyali ku Poliisi y’e Katwe kyokka abadde ayigibwa era ku Poliisi y’emu era ku misango gy’okubba bodaboda n’okutta bannanyinizo nga Poliisi erina fayiro za misango 4.

Onyango era agambye nti Mugisha ne banne babadde batunda pikipiki yonna ebiddwa wakati w’emitwalo 30 kwa 40 era abantu bangi abattiddwa.

Mungeri y’emu agambye nti Mugisha agenda kubatwala mu bifo byonna gy’abadde atunda bodaboda ne bazitema sipeeya bakwatibwe baggalirwe mu bwangu.

Kigambibwa Mugisha ne banne babadde bakatta aba bodaboda 17 nga batwala pikipiki zaabwe.

Eddoboozi lya Onyango