Abasajja babiri (2) nga bonna bagwira basindikiddwa ku Limanda mu kkomera e Kanungu ku misango gy’okwagala okutta omuntu n’okubisa eryanyi.

Daniel Karambe okuva mu ggwanga erya Democratic Republic of Congo ne  Tafiri Nvaneza okuva e Rwanda basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka mu kkooti e Kanungu Andrew Katurubuki ku misango gy’okubba Swaibu Bahati omutuuze ku kyalo Kashenyi mu town council y’e Kanungu nga 5th, January, 2019 ku muddumu gw’emmundu.

Karambe ne Nvaneza bateeka Katurubuki ku muddumu gw’emmundu ne bamutwalako ssente ze ezitamanyiddwa muwendo ne Densite y’eggwanga.

Mu kkooti, Karambe ne Nvaneza baganiddwa okwogera ekigambo kyonna kuba bombi bali ku misango gya naggomola, egiteekeddwa okuwulirwa mu kkooti enkulu yokka era basindikiddwa ku limanda mu kkomera okutuusa nga 1, August, 2019.