Ssemaka asibiddwa emyaka 50 lwa kutta mukwano gwe, omukyala asigadde mu maziga ‘vuvuzera’ ogirekedde ani mwami

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Dr Winfred Nabisinde asindise omusajja okusibwa emyaka 50 lwa kutta muntu.

Vincent Mpagi yasindikiddwa mu kkomera ku misango ebbiri okuli ogw’obutemu n’obubbi.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Amina Akasa nga 3, April, 2018, Mpagi ng’asinzira ku kyalo Kaswa mu disitulikiti y’e Lwengo, yakwata ejjambiya n’embazzi naalumba mukwano gwe Mike Matovu n’abba essimu, Ttiivi ne ssente akakadde kamu n’ekitundu.

Akasa agamba nti oluvanyuma lw’okubba ebintu byonna, yamutematema Matovu era omulambo gwe, gwasangibwa mu kitaba kya musaayi.

Munnamateeka wa Mpagi, Lule Alexander asabye omulamuzi okuwa omuntu we ekibonerezo ekisamusaamu kuba alina famire gy’alina okulabirira.

Wabula omulamuzi bw’abadde awa ensala ye agambye nti ebikolwa by’okubba n’okutta abantu bibadde byeyongedde mu bendobendo ly’e Masaka era bantu nga Mpagi balina okuba eky’okulabirako.

Omulamuzi amusibye emyaka 35 lwa kutta muntu ate 15 lwa kubba, gye myaka 50 mu kkomera.