Poliisi ekutte omusajja ssemaka Leo Tumwesigye ku by’okutta abaana be, babiri (2), ekkiro ekikeseza olwa leero.

Tumwesigye mutuuze ku kyalo Mizimu mu ggombolola y’e Kasambya mu Disitulikiti y’e Kakumiro yakwattiddwa ku by’okutta Matthias Mwesigwa myaka 2 ne Yeremiah Niwamanya myezi 9.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine, Julius Hakiza, Tumwesigye yafunye obutakaanya ne mukyala we Sharon Ninsiima ku ssaawa 4 ez’ekkiro olw’ensonga atamanyiddwa.

Omukyala yasobodde okudduka olw’okutya bba okumutusaako obulabe kyokka abaana yabalese mu nnyumba.

Omusajja yasobodde okukwata ejambiya natematema abaana bombi okutuusa lwe bafudde era emirambo gyabwe gyasangiddwa mu kitaba ky’omusaayi.

Abatuuze bebasobodde okukwata omusajja nakwasibwa Poliisi y’e Kakumiro.

Hakiza agamba nti emirambo gy’abaana basobodde okugyekebejja mu ddwaaliro e Kakumiro era bafudde olw’omusaayi omungi ogwabavuddemu.

Mungeri y’emu emirambo gikwasiddwa ab’enganda okuziikibwa ate ssemaka Tumwesigye aguddwako omusango gw’obutemu nga Poliisi bwenoonyereza ekivuddeko ettemu eryo.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •