Bya Nalule Aminah

Poliisi ekutte abantu 14 okuli n’abakyala ku by’okutta abakadde.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abakadde battibwa ab’enganda n’ekigendererwa eky’okutwala ebintu byabwe.

Enanga agamba nti wakati wa 14, July ne 10, August, 2019 abakadde 7 battibwa.

Mu ngeri y’emu agambye nti mu bbanga lya mwezi gumu, abakadde 10 balumbiddwa, 7 battiddwa nga batemeddwa ebiso ssaako n’okubatuga.

Ebitundu, abakadde gye basinze okuttibwa kuliko Mbarara, Bushenyi, Sheema, Mbale n’ebitundu ebirala.

Poliisi egamba nti mu July, Adoniya Rumanyisa myaka 70 yattibwa ab’enganda e Kigezi.

Ate omukadde Zelina Akena myaka 80 yattibwa muzukkulu we Julius Mawa nga yamukuba enkumbi ku mutwe mu disitulikiti y’e Maracha.

Ate Sironko, Yefusa Mayimani yattibwa mukyala we okusobola  okwezza eby’obugagga.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru, Enanga agambye nti abakwate essaawa yonna babatwala mu kkooti.