Poliisi ekutte abasirikale babiri (2) ku by’okuvirako omusibe okufa mu kaddukulu ka poliisi.

Abakwattiddwa kuliko Corporal Robinah Namagaru ne Police Constable William Mugodi ate munnabwe Jimmy Rugambamazima aliira ku nsiko.

Kigambibwa Corporal Namagaru ne banne batulugunyizza omusibe Alex Lubiika ekyavuddeko okufa kwe.

Omulambo gwa Lubiika gwasangiddwa mu kaddukulu ka Poliisi sabiti ewedde ku Lwokutaano ku makya nga gwonna gujjude ebiwundu, ekiraga nti yakubiddwa ekyavuddeko okufa kwe.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, Lubiika yakwatibwa oluvanyuma lw’abasirikale okuva ku Poliisi e Kiwenda okumutaasa ku batuuze abaali bamukuba nga bamuteebereza okubba embuzzi.

Owoyesigyire agamba nti waliwo ebigambibwa nti abasirikale balagajjalira omulimu gwabwe ne batwala Lubiika mu kaddukulu ka poliisi ng’ali mu mbeera mbi kuba yali akubiddwa abatuuze.

Mungeri kigambibwa nti abasirikale benyigira mu kukuba Lubiika kyokka byonna ekitongole kya Poliisi ekikwasisa empisa ekya Professional Standards Unit (PSU) kitandiise okubinoonyerezaako.


  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •  
  •