Bya Nalule Aminah

Poliisi mu Kampala ekutte abantu babiri (2) abateeberezebwa okwenyigira mu kubba embuzzi, era basangiddwa n’embuzzi 15 nga zitikiddwa mu takisi.
Abakwattiddwa kuliko Mukiibi Richard ne Senyange Richard era basangiddwa mu takisi namba UBB 395K.


Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango abakwate, basangiddwa nga betekateeka okuggya embuzzi mu Kisenyi, okutwalibwa ku kizinga kye Buvuma.


Mukiibi ne munne babadde tebalina kiwandiiko kyonna ekibakkiriza okutambuza embuzzi wadde ekiraga nti ziguliddwa.
Mu kiseera kino abakwate bali ku kitebe kya Poliisi mu Kampala (CPS) nga Poliisi bwekola okunonyereza.