Edwin Katumba amanyikiddwa nga MC Kats omukozi ku NBS TV alidde eswaga, omuwala bw’alinye ku siteegi okuzinamu naye kuba y’omu ku basereebu abasinga okwogera obulungi ku bivvulu.

MC Kats yabadde mu kifo ekimu ekisanyukirwamu mu Kampala era okuzina n’omuwala, enduulu yasanikidde ekifo kyona.

Abamu ku badigize baawuliddwako nga bagamba nti waaya wa MC Kats erina ennyonta kuba eyali mukyala we omuyimbi Fille Mutoni yanoba era mu kiseera kino talina mukyala amanyiddwa.