Teddy Naluswa mukyala wa Pasita Aloysius Bugingo ensonga azongeddeyo mu kkooti enkulu mu Kampala okusaba eky’omulamuzi wa kkooti ento e Kajjansi Mary Babirye okuva mu musango gwe.

Kinnajjukirwa nti Pasita Bugingo yadduukira mu kkooti e Kajjansi ng’asaba agattululwe ne mukyala we Teddy.

Wabula Teddy agamba nti omusango gulimu eby’obugagga ebisoba mu buwumbi 2 ate mu mateeka, kkooti yonna ento ekoma ku misango e gitasussa bukadde 50.

Singa kkooti enkulu efulumya ekiragiro ekiyimiriza omulamuzi Babirye okugenda mu maaso n’omusango, y’engeri yokka eyinza okuyamba Teddy, omusango gwe okutwalibwa mu kkooti endala erina obuyinza okuwuliriza omusango ogwo wabula mu kiseera kino omulamuzi Babirye akyagenda mu maaso n’omusango.

Mu kkooti, omulamuzi Babirye yagambye nti mu kiseera kino ensonga y’okugattululwa yesoose mu ddiiro ate oluvanyuma ensonga y’okutunulira eby’obugagga bya Teddy ne Bugingo ejja kujja mu maaso ng’obujjulizi bwonna buleeteddwa mu kkooti.