Omusajja Aloysius Kityo myaka 40 nga mutuuze ku kyalo Mbulire mu ggombolola y’e Bigasa mu disitulikiti y’e Bukomansimbi, asindikiddwa mu kkomera okusibwa emyaka 11 lwa kutwalira mateeka mu ngalo era asingisiddwa emisango gya butemu.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Amina Akasa, nga 13, June, 2018, Kityo ne banne baliira ku nsiko, batwalira amateeka mu ngalo ne bakuba John Sibo ne Peter Masimu, amayinja, emiggo, n’ensambaggere ne battibwa, webaali babateebereza okwenyigira mu kubba eggaali.

Mu kkooti, Kityo akirizza omusango era munnamateeka we Alexander Lule asabye omulamuzi omuntu we okumuwa ekibonerezo ekisamusaamu kuba akirizza mangu omusango.

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Winfred Nabisinde bw’abadde awa ensala ye agambye nti tewali bujjulizi bulaga nti okutta Sibo ne Masimu, Kityo yakikola yekka ng’omuntu.

Omulamuzi Nabisinde alagidde Kityo okusibwa emyaka 13 kyokka amusaliddeko  omwaka gumu (1) lwa kukirizza musango n’omwaka gumu (1) ebbanga ly’akulungudde ku limanda.

Okusiba Kityo emyaka 11 kikoleddwa okutangira abantu abalala okutwalira amateeka mu ngalo mu ggwanga n’okusingira ddala mu disitulikiti y’e Bukomansimbi.