Bya Nalule Aminah

Poliisi y’e Mityana ekutte omusomesa ku by’okusobya mwana omuto, muzadde we, bwe yabadde amututte okumusomesa ekimanyiddwa nga ‘coaching’ mu kiseera kino eky’oluwumula.

Geoffrey Mugula myaka 30 yakwattiddwa ku by’okudda ku mwana myaka 10 namusobyako, nnyina bwe yabadde agenze ku mirimu gye egy’okutambuza emmere mu katawuni k’e Maanyi.

Omusomesa olwamaze okusobya ku mwana, yamuwadde shs 5,000 obutabaako ky’ayogera wadde okutegeeza ku nnyina.

Wabula omwana ssente yazigaanye era wakati mu kulukusa maziga, yasobodde okutegeeza ku muzadde we, eyasitukiddemu okutegeeza ku Poliisi.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala Norbert Ochom, omusomesa akwattiddwa ku musango gw’okujjula ebitanajja era akuumibwa ku kitebe kya Poliisi e Mityana.