Bya Nalule Aminah

Abantu 10 bakwattiddwa Poliisi ku bigambibwa nti benyigira mu kuwamba n’okutta Maria Nagirinya ne Ronald Kitayimbwa.

Nagirinya ne Kitayimbwa bawambibwa ekkiro ky’olunnaku olw’okusatu okuva e Lungujja era emirambo gyabwe, gyazuulibwa nga gisuuliddwa mwala ku kyalo Nakitutuli mu ggombolola y’e Nama mu Disitulikiti y’e Mukono, sabiti ewedde ku Lwokutaano nga gibikiddwako ebisubi.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abantu basatu (3) bakwattiddwa olw’okunoonyereza kwabwe ate musanvu (7) abakwattiddwa, babadde bagezaako okulemesa abasirikale okukwata banaabwe 3, abateberezebwa okwenyigira mu kuwamba n’okutta Nagirinya ne munne.

Enanga mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru agambye nti kamera za Poliisi eziri ku nguudo, zaasobodde okubayamba okubatuusa ku bamu ku bakwattiddwa.

Agamba nti wadde abantu 10 bali mu mikono gyabwe, abasirikale baabwe bakyagenda mu maaso n’okunoonyereza okukwata abantu bonna abenyigidde mu ttemu eryo.