Omuyimbi Eddy Kenzo avuddeyo ku bigambibwa nti y’omu ku bayimbi abasajja abalina abaana abangi mu kisaawe ky’okuyimba.

Mu kiseera kino, Kenzo asobeddwa eka ne mu kibira olwa mukyala we Rema Namakula okumusuulawo.

Rema yafunye omusajja omulala Mr Sebunya Doctor era mbu batekateeka kwanjula wabula Kenzo asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okutegeeza eggwanga omuwendo gw’abaana gw’alina mu kiseera kino.

Kenzo agambye nti mu bulamu bwe alina abaana babiri (2) bokka (Maya Musuuza Mirembe ne Aamal Musuuza Malaika) era mu kiseera ng’ali ne Rema emyaka 5, talina mwana yenna bbali, “tankwatirangako mubwenzi nga wadde ebigambo bagamugambye binji simulazeko mukazi yena sizadde wabweru omwana gweyansanga naye Era gwe nkyalina era y’e maya musuuza mirembe i have 2 kids maya and Aamal“.