Poliisi y’e Kabale ekutte omukyala ku by’okutta muwala we abadde yakazaalibwa.

Marion Nshabenta, omutuuze ku kyalo Makanga mu tawuni kanso y’e Ryakarimira mu disitulikiti y’e Kabale yakwattiddwa, bw’akutte omwana we wa lunnaku lumu, namusuula mu kabuyonjo nafiiramu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate, omu ku batuuze eyabadde agenze mu kabuyonjo, yawulidde omwana ng’akaaba, kwekutegeeza ku batuuze banne.

Abatuuze, bekozeemu omulimu, kabuyonjo ne bagimenya era webatuukidde ku mwana nga yafudde dda.

Amangu ddala, maama Nshabenta yakwattiddwa ku misango gy’obutemu, natwalibwa ku Poliisi y’e Kabale.