Abasirikale 4 bakwattiddwa olw’okulemesa omukyala okutuuka ku ntikko ng’ali mu kaboozi ne muganzi we mu mmotoka, vidiyo ereese obuzibu

Poliisi mu Kampala ekutte abasirikale 4 okuva mu kabinja ka ‘Integrated Highway’ olw’okukwata akatambi ne bakafulumya, ng’abaagalana babiri (2) bali bukunya mu mmotoka ku luguudo lwa Kakira Ninja.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abakwate kuliko Magala Mathew, Ssemakula Musa, Ndyanabo Yonasamu ne Mayengo Joel era mu kiseera kino bali ku poliisi y’e Jinja mu bitundu bye Kiira.

Enanga agamba nti abasirikale baali mu kulawuna obudde obw’ekiro ku luguudo lwa Kakira – Jinja, kwe kusangiriza abaagalana nga bali mu kaboozi okumpi ne Kakira Main gate nga bali mu mmotoka, abasirikale baabwe ne bakwata akatambi kyokka oluvanyuma ne bakafulumya, okusaasanira emitimbagano gya yintanenti n’okusingira ddala Face Book, ng’omukyala n’omwami tebayambadde.

Enanga agamba nti abaagalana okunyumiza akaboozi mu mmotoka, baalina omusango, okwefuula ekitagasa mu bantu kyokka abasirikale baabwe okufulumya akatambi, tekikirizibwa mu ssemateeka abasirikale kwe balina okutambulira.

Agamba nti abasirikale bonna, balina okukwata omuntu yenna, asangiddwa nga yenyigidde mu kumenya amateeka ne bamutwala mu kkooti, okusinga okukola ebyo, ebiswaza ekitongole.