Entiisa ebutikidde abatuuze mu tawuni kanso y’e Rubaare mu disitulikiti y’e Ntungamo, ssentebbe wa LC II akiikirira Nyamurindira Enos Kabonero bw’asangiddwa ng’attiddwa.

Omulambo gwe gusangiddwa mu lutobazi mu tawuni kanso  y’e Ntungamo ku luguudo lwe Ntungamo – Kabale, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri.

Okusinzira ku muganda w’omugenzi Douglas Agaba, Kabonero yawambibwa akawungeezi k’olunnaku olwa Mmande nga 16, September, 2019, abasajja abaali mu ngoye eza buligyo nga balina emmotoka ne bamutwala mu kifo ekitamanyiddwa.

Amangu ddala badduukira ku Poliisi okugitegeeza nti omuntu waabwe awambiddwa kyokka kibabuseeko okuzuulibwa nga yattiddwa.

Ku nsonga eyo, adduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Ntungamo, Damiano Katwesiime agambye nti Poliisi atandiise okunoonyereza ku nsonga eyo, ey’okuwamba n’okutta omuntu.