Ebitongole ebikuuma eddembe ebiri mu kunoonyereza ku ky’okuwamba n’okutta omuwala Maria Nagirinya ne ddereeva we Ronald Kitayimbwa, bitadde abantu 11 kwabo abaali bakwattiddwa.

Maria Nagirinya ne Kitayimbwa
Maria Nagirinya ne Kitayimbwa

Ebitongole okuli Military Intelligence-CMI, Flying Squad Unit-FSU, Crime Intelligence –CI and Criminal Investigation Directorate –CID, mu bbanga lya sabiti satu (3), bakutte abantu 18, abaagambibwa nti benyigira mu kuwamba n’okutta Nagirinya ne Kitayimbwa kyokka 11 bayimbuddwa.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abamu ku bayimbuddwa, baakwattibwa nga Nagirinya yakawambibwa nga basinzira ku mboozi eyali essimu (wakati wa Nigirinya ne mikwano gye) ate abalala bakwattibwa nga basinzira ku kkamera enkesi eziri ku nguudo z’omu Kampala nga bateeberezebwa okwenyigira mu lukwe.

Enanga agamba nti okunoonyereza kwa Poliisi kulaze nti Ivan Makanga ng’avuga bodaboda n’omusabaze we Mugisha ssaako ne Bwire nga naye avuga bodaboda, bonna bayimbuddwa, olw’okunoonyereza okulaga nti tebaali mu lukwe wabula kkamera okubakwata nga basemberedde emmotoka y’omugenzi Nagirinya ekika kya Spacio namba UBA 570V baali ku mirimu gyabwe egy’okutambuza abantu.

Abalala abaali bakwattiddwa Poliisi ye Fortunate Ayebare okuva e Kireka.

Poliisi egamba nti Ayebare yafuna essimu okuva ku muganzi we, eraga nti Nagirinya yali mu mikono gya Poliisi nga ebigambibwa nti yali awambiddwa, kwali kuwudiisa bantu.

Enanga agamba nti Ayebare yakwatibwa bambega b’amagye aba CMI okubayambako okubatuusa ku muganzi we eyategerekeseeko erya Mugisha eyakwatibwa oluvanyuma.

Mugisha ng’akwattiddwa, yategeeza Poliisi nti yakubira muganzi we Ayebare essimu ku nsonga za Nagirinya ng’asinzira ku kibooziboozi mu bantu ku mirimu gye bakolera.

Enanga agamba nti abantu bonna 11 abatereddwa, tebaali mu lukwe lwa kutta Nagirinya ne Kitayimbwa.

Mu kiseera kino ebitongole okuli CMI, CID ne FSU birina abantu bana (4) abagambibwa okwenyigira mu kuwamba n’okutta Nagirinya ne Kitayimbwa omuli Koprian Kasolo amanyikiddwa nga Arsenal, Johnson Lubega (Rasta oba Eto), Hassan Kisekka (Masada) ne Nassif Kalyango (Muwonge).

Enanga era agamba nti waliwo abantu abalala basatu (3) abakyaliira ku nsiko, abanoonyezebwa ku by’okwenyigira mu ttemu eryo.

Nagirinya ne Kitayimbwa, baawambibwa August 28, 2019 okuva e Lungujja, emirambo gyabwe ne gizuulibwa e Mukono mu lusenyi lw’e Nakitutuli – Ttakkajjunge mu ggombolola y’e Nama nga August 30, 201.

Nagirinya yazaalibwa February 28, 1990. Nnyina Allen Lunkuse yafa wa myaka ena.

Mu 2017, yayanjula bba Edagr Gateni, mu maka ga bakadde be Antony Francis Lubowa e Kibuye, oluvannyuma ne bakola embaga mu October, 2018.