Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Mbale Dorcas Zoka aliko omusajja gwasindise ku limanda mu kkomera lye Maluku lwa kutwala muntu mu ggwanga erya Oman nafiirayo.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, Steven Kuremu yakukusa Christine Nambereke okutwala mu ggwanga erya Oman era okumutwala yamuyisa mu disitulikiti y’e Manafwa ne bayita mu Kenya.

Webatuuka mu Oman, Nambereke yafa nga bakatuuka ennaku ntono nga 10, march, 2019.

Oluvanyuma omulambo baguzza mu Uganda era Nambereke naziikibwa ku kyalo Laaso mu ggombolola y’e Bumbo mu disitulikiti y’e Namisindwa.

Mu kkooti, omulamuzi amuguddeko emisango ebbiri (2) omuli okukusa omuntu n’okugingaginga ebiwandiiko era asindikiddwa ku limanda, okutuusa nga 24, September, 2019.

Wabula okusinzira ku mwogezi w’ekitongole ekinoonyereza ku misango Charles Twine, balina obujjulizi obumala, Kuremu okuvunaanibwa.