Bakasitoma aba Centenary Bank bakubiriziddwa okweyambisa amakubo ag’enjawulo okutereka n’okugyayo ssente mu bitundu byabwe kuba kigenda kubayamba nnyo okwanguyirwa mu ntambuza y’emirimu gyabwe.

Centenary Bank ekulungudde sabiti namba mu kutambula ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo okusisikana bakasitoma, okubategeeza ku ‘CenteAgents’ eziri mu bitundu byabwe n’okuzuula ebibanyigiriza nga bageenze mu bbanka.

Ku kijjulo ekyategekeddwa bbanka mu disitulikiti y’e Lyantonde, omubaka omukyala ow’e Lyantonde Kemirembe Pauline Kyaka yasiimye Centenary Bank okusembereza abantu obuwereza obulungi omuli ‘CenteAgents’ kuba kisobodde okuyamba abantu b’omu byalo.

Omubaka Kemirembe agamba nti okusembereza abantu obuwereza (kuba CenteAgents tewali njawulo ne bbanka), kisobodde okuyamba abantu mu byalo n’ ebibuga okujjumbira okutereka ssente, okwanguyirwa mu kutambuza emirimu gyabwe n’okukuuma obudde.

Ate Immaculate Ngulumi akulira obwa kitunzi mu Centenary Bank agamba nti okugenda eri bakasitoma, kisobodde okubayamba okulongoosa entambuza y’emirimu kuba bafuna butereevu okwemulugunya kwabwe ku nsonga ez’enjawulo.

Mungeri y’emu agambye nti n’okugenda mu bantu kitumbudde enkolagana yabwe ne bakasitoma n’okubawa amagezi ku nsonga ezitali zimu.

Okusinzira ku bbanka enkulu mu ggwanga, bbanka zonna ziteekeddwa okusembereza abantu obuwereza obulungi era y’emu ku nsonga lwaki Centenary Bank evuddeyo okwongera okuwa bakasitoma baayo essanyu.