Omukyala Zari Hassan alobesezza abazungu mu kibuga kye Dubai era bangi bakirizza nti Uganda erina ebyana ebirina emibiri.
Zari ali kulya bulamu mu kibuga ekyo kyokka ku myaka gye 39 asinga abawala abangi nnyo bato okunyirira kuba ategeera kye bayita okwetekamu ssente okwekuumira ku mulembe.


Ku Mmande, yabadde ku bbiici era yagambye nti omubiri gwonna okuwulira ebugumu y’emu ku nsonga lwaki yabadde alina okuwuga, okusobola okufuna emirembe, “It’s not a bad life, just a hot day”.

Zari alina abaana bataano (5) kyokka asobodde okukola kyonna ekisoboka okwekumira ku mutindo era mu Dubai bwe yabadde agenda mu mazzi, bangi ku basajja n’okusingira ddala abazungu baasigadde basabbaladde ate abalala amalusu nga bamira muganda.