Omusajja myaka 30 asindikiddwa mu kkomera myaka 50 lwa bubbi na butemu.

Ibra Kasekende nga mukubi wa ngato mu Kampala, asingisiddwa omusango gw’okutta Musa Mukasa eyali avuga sipensulo mu Kampala n’okubba emmotoka ye ekika kya Ipsum namba UAV 473B.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Amina Akasa, nga 24, Ogwomusanvu, 2016, Kasekende ng’ali ne mukwano gwe Lukyamuzi Yasin, bapangisa Mukasa okuva mu Kampala okubatwala e Kalungu, okulaba ku benganda zaabwe.

Kasekende ne Lukyamuzi webatuuka Lukaya, kwekutegeeza Mukasa nti bagala kwetaawuluza era kwe kumusaba addeko ebbali mu kasiko.

Amangu ddala nga Mukasa ayimiridde, baamutuga okutuusa lwe yafa era omulambo gwe ne bagusuula ku kyalo Kabale Maguluka B mu ggombolola y’e Kyamulibwa mu disitulikiti y’e Kalungu.

Kasekende bamukwatira Bukomansimbi bwe yali agezaako okutunda emmotoka y’omugenzi.

Omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka Winfred Nabisinde asalidde Lukyamuzi okusibwa emyaka 45 lwa kutta muntu ate Kasekende emyaka 50 lwa kutta n’okubba emmotoka.