Kyaddaki omugagga Medard Kiconco awangudde omuwango gw’ettaka lye Lusanja era omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Tadeo Asiimwe alagidde abatuuze bonna abesenza ku ttaka okulyamuka mu bwangu kubanga baliriko mu bukyamu.

Abantu b’omu Lusanja baasengulwa n’amayumba gaabwe ne gamenyebwa ekiro nga October 12, 2018 ekibinja kya bawannyondo abaali bakuumwa abaserikale bwe baabalumba era abatuuze abasukka mu 100 abaamenyerwa amayumba agasukka 100.

Enkya ya leero, omulamuzi Asiimwe alagidde abatuuze bonna 127, obutagezaako wadde kudda ku ttaka lye Lusanja ku luguudo oluva e Mpererwe-Kiteezi.

Omulamuzi bw’abadde asoma ensala ye, kkooti ebadde ekubyeko abantu n’okusingira ddala abasengulwa ku ttaka era omu ku batuuze ategerekeseeko erya Juma omuvuzi wa bodaboda azirise bw’akitegedde nti bawanguddwa.

Mu kkooti, omulamuzi Asiimwe agambye nti tewali kubusabuusa kwonna, ettaka lya mugagga Kiconco, yaligula mu 2016 okuva ku Paul Katabazi Bitabareho mu mateeka era alina ekyapa.
Okusinzira ku bujjulizi, abatuuze bagamba nti ettaka lyabwe e Lusanja mu disitulikiti y’e baligula ku Crispa Bitarabeho era balina endagaano kyokka omulamuzi agambye nti Bitarabeho yali takirizibwa kutunda.

Omulamuzi Asiimwe era anenyeza nnyo ssentebe w’ekyalo Lusanja Samuel Kibuuka okubuzabuza abantu ng’ateeka omukono ku ndagano z’ettaka nti batuuze mu disitulikiti y’e Kampala ate nga Lusanja esangibwa mu disitulikiti y’e Wakiso.

Medard Kiconco
Medard Kiconco

Omulamuzi era alagidde ekitongole ekya Kampala Capital City Authority (KCCA) okuddamu okutema ensalosalo ezawula Kampala ne Wakiso okusobola okumalawo okubuzabuza abantu.
Omulamuzi Asiimwe era alagidde Kiconco okusasula abatuuze 4 kw’abo 17 beyasanga ku ttaka mu 2016.

Omugagga Kiconco yali yasaba kkooti abatuuze okumusasula obukadde bwa ssente 500 olwa batuuze okumulemesa okutambuza emirimu okuva omwaka oguwedde ne ssente zasaasaanyizza mu kkooti kyokka omulamuzi Assimwe agobye okusaba kwe.

Ettaka lye Lusanja litudde ku yiika 85 ng’omugenzi Paul Bitarabeho yaligula mu 1978 okuva ku Namasole Bagalaayeze Lunkusu.

Ensala eno ebasomeddwa amyuka omuwandiisi wa kkooti Sylvia Nabakooza olwaleero ku kkooti enkulu mu Kampala.

Wadde Kiconco awangudde omusango, abamu ku babaka ba Palamenti nga bakulembeddwamu ow’e Kyadondo East Robert Kyagulanyi ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine abadde akoze kyonna ekisoboka abatuuze okuwangula omusango gwo.
Mu kiseera kino tekimanyiddwa abatuuze bagenda kudda wa, naye nze naawe tulinde ekinaddako.