Ekikangabwa kibutikidde abatuuze ku kyalo Kyohogera mu ggombolola y’e Nyamarwa mu disitulikiti y’e Kibaale ssemaka Emmanuel Kamuhanda, bw’atuze mukyala we Kilimentine Abitegeka naamutta.

Kigambibwa omukyala yagaanye okwegatta ne bba ng’amulumiriza nga bw’asukkiridde obwenzi, ekyatabangudde omwami Kamuhanda naamutta.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Albertine, Julius Hakiza, omulambo gw’omukyala gusangiddwa baneyiba, amangu ddala ne batemya ku Poliisi.

Hakiza agamba nti omulambo, gusangiddwako ebikuyiro mu bulago ne mu ffeesi, ekiraga nti yatugiddwa nnyo.

Omulambo, gutwaliddwa mu ddwaaliro e Kibaale okwekebejjebwa ate Poliisi etandiise okusamba ensiko okunoonya omusajja gy’addukidde.

Poliisi egamba nti emisango gy’abasajja okutta bakyala baabwe gyeyongedde nga kivudde ku ttamiiro erisukkiridde, obutabanguko mu maka, obutakaanya ku ttaka ssako n’obwenzi obusukkiridde.