Abatuuze b’ekyalo bakubye ssentebbe waabwe emiggo nga bamulanga kubba nkoko ya mukyala we.

Katemba abadde ku kyalo Tumbafu central mu ggombolola y’e Padibe mu disitulikiti y’e Lamwo era ssentebbe w’ekyalo Charles Okee bamukubidde mu lukiiko lwa kyalo ssaako n’okumuggya obwesigwa.

Embeera okutabuka, kidiridde mukyala agaanye okwatuukiriza amannya ge, okutegeeza bba Okee nti enkoko ye yabiddwa, kyokka ssentebbe teyafuddeyo.

Omukyala yaduukidde eri amyuka ssentebbe w’ekyalo Bosco Owachgiu, eyayise olukiiko lw’ekyalo mu bwangu.

Mu lukiiko, omu ku batuuze Michael Odongo yategeezeza nga bw’aliko enkoko gye yagula ku ssentebbe w’ekyalo nga 8, October, 2019 ku shs 15,000.

Ssentebbe Okee akkirizza okubba enkoko era akubiddwa kibooko taano (5) nga takuteyo ate oluvanyuma abatuuze bamugyemu obwesigwa.