Abakulira ebyokwerinda mu disitulikiti y’e Kitgum bayisiza ekiteeso ekiyimiriza omuyimbi William Otim amanyikiddwa nga Bosmic Otim okutekateeka ekivvulu kyonna mu kitundu kyabwe.

Okusinzira ku mubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Kitgum (RDC) William Komakech, Bosmic ayimiriziddwa lwa nsonga ya byakwerinda.

Komakech agamba Bosmic abadde asukkiridde okwenyigira mu byobufuzi ebyawulamu abantu era abadde alina ekigendererwa okweyambisa ekitone kye eky’okuyimba, okuyimba ennyimba ezaawulamu abantu, ekitaataganya ebyokwerinda.

Bosmic y’omu ku bawagizi b’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine era gye buvuddeko yalondebwa ku bwa Ssabakunzi bw’ekisinde kya People power mu bitundu bye Acholi.

Komakech agamba nti abayimbi balina okusalawo wakati w’okuyimba n’ebyobufuzi kuba tebakirizibwa kugattika byonna.

Komakech alabudde abategesi b’ebivvulu okwesonyiwa Bosmic mu disitulikiti y’e Kitgum n’ebitundu ebiranyewo kuba mu kiseera kino alina ensonga endala zaalina okumaliriza ne Poliisi.

Wabula Bosmic agamba nti okumulemesa okuyimba kigendereddwamu okumunafuya mu byenfuna bye kuba mu kuyimba asobodde okufuna ssente okwebezaawo ne famire ye.


READ  No Local Artist Can Match Bobi Wine's Fame And Power Now- Omulangira Suuna Heaps Praises On People Power Honcho