Abavuzi ba bodaboda mu Tawuni Kanso y’e Luweero era mu disitulikiti y’e Luweero bakubye omu ku bantu abagambibwa okwenyigira mu kubba pikipiki mu kitundu kyabwe, omulambo gwe ne baguteekera omuliro.

Okusinzira kw’addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Luweero Ahamed Musakana, akakasiza eby’okutta omusajja ategerekeseeko nga Peter  n’okwokya omulambo gwe.

Aba bodaboda era bagezezaako okutta omusajja omulala Gerald Senabulya agambibwa nti naye yenyigira mu kubba pikipiki kyokka Poliisi esobodde okubagumbulula.

Musakana avumiridde ekya batuuze okutwalira amateeka mu ngalo era agambye nti balina abakwate babiri (2) ku by’okubba bodaboda, okutta n’okulumya abazivuga.

Mungeri y’emu agambye nti Poliisi esobodde okuzuula Pikipiki bbiri (2) mu kazigo k’omusajja attiddwa okuli Honda namba UDG 567Q ne Bajaj namba UEA 594L, ebisumuluzo ebyenjawulo ennyondo, ejjambiya, emitayimbwa n’ebintu ebirala ku kyalo Kalongo Miti zone mu Tawuni Kanzo y’e Luweero.

Ate ba neyiba bagamba nti omusajja attiddwa abadde yakamala mu kitundu emyaka egisukka 10 nga teri n’omu ku batuuze asobola kumutebereza nti y’omu ku babbi.

Alex Kabango omu ku bavuzi ba bodaboda mu kitundu, agambye nti ababbi abalala basatu (3) baduuse era basimattuse okuttibwa abatuuze.

Abatuuze okutabuka, kidiridde ababbi okubba Pikipiki ya Fred Ssentongo ekika kya Bajaj namba UEA 594L ekkiro ekikeseza olunaku lwa leero oluvanyuma lw’okumukuba ennyondo.
Ssentebbe wa Luweero Boda Boda Riders’ Association, Robert Ssekyanzi agamba nti Ssentongo yasangiddwa abatuuze ng’ali mu mbeera mbi, natwalibwa mu ddwaaliro lya Bishop Ceaser Asili ng’ataawa era olwatuusiddwa mu ddwaaliro nayogera amannya g’ababbi.

Ssenabulya ali ku Poliisi y’e Kasana ku misango gy’okubba oluvanyuma lw’okusimatukka okuttibwa.