Mwanamuwala Zahara Toto eyali omuzinyi mu kibiina kya Chill Galz kati nga mukozi ku Sanyuka Tv abikudde ekyama lwaki ali mu laavu n’omusajja ye gw’ayita ‘Big Papa’.

Sabiti eno ku lunnaku Olwokusatu, Big Papa yawadde kabite we Toto kampyata  y’emmotoka ekika kya BMW, okulaga nti ssente weeri era mwetegefu okukyusa obulamu bwa mukyala we omuli okumuwonya embeera embi gy’alimu nga okulinya bodaboda buli lunnaku.

Toto bwe yabadde ku TV, yagambye nti yakoowa ‘bu love niga ssemyekozo’ tebulina ssente era y’emu ku nsonga lwaki ali mu laavu ne ‘Big Papa’ kuba musajja alina kye bayita ssente.

Agamba nti bangi ku basajja babadde bamutya okumusaba omukwano kuba tebalina ssente kyokka ‘Big Papa’ yazze amazeeko kuba yasobodde okumuwa amaka, emmotoka n’ebintu ebirala.

Ku nsonga y’okwanjula ‘Big Papa’ mu bazadde, Toto agamba nti alina okusooka okugenda mu ggwanga erya Australia gye bazaala omulenzi we kuba ebintu by’obufumbo sibyangu era asambaze ebigambo ebyogerwa nti ‘Big Papa’ munnansi wa South Sudan.