Kyaddaki Dr. Hamza Ssebunya alaze obukugu mu nsonga z’omukwano mu kiseera nga yetegekera kumwanjula mu bazadde b’omuyimbi Rema Namakula.
Emikolo gya Rema egy’okwanjula Sebunya gyakubeerawo nga November 14, omwaka guno ogwa 2019 kyokka ebigambo bingi byogeddwa okuva omwezi oguwedde Rema lwe yafulumya kkaadi eziyita abantu ku mukolo nga mu be yayita mwe muli ne Eddy Kenzo gw’abadde amaze naye emyaka 5 mu bufumbo obutabadde butongole.

Wabula Dr. Hamza asobodde okweyambisa omukutu ogwa Face Book okugamba nti laavu tezibirwa kkubo, laavu erabikira mu bikolwa, omukwano omutuufu gulina okuwangula ebbanga lyonna, “No Retreat No Surrender! Love Cannot be faked for so long it will deny you , Love is not about explanation or consolations Love is Natural and Love is Action. True Love Wins Always“.

Ebigambo bya Dr.Ssebunya biraga nti musajja atageera kye bayita omukwano kyokka tekimanyiddwa oba ddala ye bba wa Rema omuggya.