Bya Nalule Aminah

Kyaddaki poliisi ekutte abantu mwenda (9) ku by’okutigomya abatuuze mu bitundu bye Kampala ne Mbarara.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga, Fred Enanga, ku 9 abakwattiddwa, mukaaga (6) bagiddwa mu disitulikiti y’e Ntungamo nga baasangiddwa n’emmundu 2 ne pikipiki 3 mu nju zaabwe.

Ku 6 abakwattiddwa, kuliko munnansi wa Rwanda Nkuruziza Sam abadde asula mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.

Ate Bwebajja, baakwatiddeyo abantu basatu (3) okuli Mawanda David, Nsubuga Gerald ne Lusiyon Ronald, abaasangiddwa n’emmundu bbiri (2) mu maka gaabwe.

Enanga, mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi mu Kampala, agambye nti okunoonyereza ku bantu bonna abaakwattiddwa, kutandikiddewo mbagirawo.