Poliisi ekutte omu ku batemu abagambibwa okwenyigira mu kutta abantu basatu (3) mu kiro, ekyakesezza olunnaku olw’eggulo ku Mmande ku kyalo Kalilo mu ggombolola y’e Kalilo mu disitulikiti y’e Lyantonde.

Kigambibwa, abatemu babadde babiri (2) ne bayingirira ssemaka Bagabo Francis myaka 60 ku ssaawa nga 3 ez’ekiro nattibwa ssaako ne bakyala be Kellen Nakato abadde amanyikiddwa nga Mulongo atemera mu gy’obukulu 40 ne Leokadia Baliwahenki era nga bonna bakubiddwa amasasi.

Wabula okusinzira ku kiwandiiko kya Poliisi, ebitongole ebikuuma ddembe okuli ekya Flying Squad ne CMI, bikutte Kakuru Ben ng’asangiddwa Rwampara mu disitulikiti y’e Mbarara era mu nju ye, musangiddwamu amasasi 14.

Mu kiwandiiko, amyuka addumira Poliisi mu ggwanga, Maj.Gen.Sabiti Muzeeyi alagidde abasirikale okwongera amaanyi mu kunoonya abantu bonna abenyigidde mu ttemu eryo bakwattibwe era abalagidde okusimba amakanda mu disitulikiti y’e Mbarara.

Wabula okunoonyereza kwa Poliisi kulaga nti abatemu batabani b’omugenzi okuli Mwebaza Nathan eyali maggye ssaako ne Kakuru akwattiddwa.

Kigambibwa obutakaanya ku ttaka ssaako n’enjawukana mu famire y’emu ku nsonga lwaki basse abantu baabwe.