Kyaddaki omuyimbi Eddy Kenzo yewozezaako ku kukyala kwe eri omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni mu State House Entebbe ku ntandiikwa ya wiiki eno.

Mu kukyala kwa Kenzo, yasobodde okulaga Pulezidenti Museveni ‘Award’, zawangudde mu ngeri ez’enjawulo era Museveni mu ssanyu, yamusuubiza okumukwasizaako mu kutumbula talenti ye omuli okukwata vidiyo.

Wabula Kenzo agamba nti okukyala kwe eri Pulezidenti Museveni tekulimu byabufuzi, yakikoze kuba alumwa ku bigenda mu maaso mu ggwanga omuli abantu okuttibwa.

Kenzo agamba nti singa abantu battibwa, n’okuyimba kusanyalala era okuwaayo ebirowoozo bye eri omukulembeze w’eggwanga simusaango ng’abantu balina okukomya okumuvuma.


Agamba nti, alina abantu bangi nnyo abamugoberera n’okusingira ddala abavubuka era y’emu ku nsonga lwaki alina okweyambisa eddoboozi lye ng’omuyimbi, okulwanirira ku nsonga ezibanyigiriza.