Poliisi y’e Rakai ekutte maama myaka 24 ku by’okutta omwana we gw’abadde yakazaala.

Joan Kyabingondo omutuuze ku kyalo Runoni mu ggombolola y’e Lwamaggwa mu disitulikiti y’e Rakai yakwattiddwa.

Okusinzira ku Kansala we Lwamaggwa, Moses Bakokyoyiga, nga 28, October, 2019, Kyabingondo yazaala omwana kyoka oluvanyuma yamusudde mu kabuyonjo.

Bakokyoyiga agamba nti abatuuze basobodde okumutegezaako, kwekuyita poliisi okunoonyereza ku nsonga eyo.

Ku Poliisi, omukyala agambye nti, omusajja okugaana okuwa omwana obuyambi y’emu ku nsonga lwaki yamusudde mu kabuyonjo.

Addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Rakai Ben Nuwamanya, agambye nti omwana, tebasobodde kumutaasa kuba Poliisi yayitiddwa nga yafudde dda.

Nuwamanya era agambye nti omukyala bamututte okumwekebejja obwongo kuba kyewunyisa omukyala ategeera, okutta omwana we.

Ate abatuuze bagamba nti abasajja okutikka abakyala embuto kyokka ne balemwa okubalabirira y’emu ku nsonga lwaki abakyala benyigidde mu kutta abaana babwe.

Kyabingondo ali ku Poliisi ku misango gy’okutta omuntu era essaawa yonna bamutwala mu kkooti.