Omuyimbi Jennifer Full Figure aleese bwiino yenna ku mugenzi Yasin Kawuma agambibwa nti yali ddereeva w’omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine.
Kawuma yakubwa amasasi nga August 13, 2018 mu Arua ng’atudde mu mmotoka ya Bobi Wine bwe baali mu kitundu ekyo okunoonyeza Kassiano Wadri akalulu ng’omubaka w’ekibuga Arua, okudda mu bigere bya Ibrahim Abiriga eyattibwa nga 8, June, 2018 e Kawanda.

Full Figure agamba nti Kawuma teyali ddereeva wa Bobi Wine wabula yali ku bavubuka abenjera abaali batambulira ku Bobi Wine mu kiseera ky’okunoonya akalulu mu bitundu bye Gulu ne Arua.

Mungeri y’emu agambye nti Kawuma ekyamuleeta mu mmotoka ya Bobi Wine yali anoonya kifaananyi ekya ‘selfie’, kwekusaba Bobi Wine ne ddereeva we okusigala mu mmotoka kuba Bobi yali agenda kulya mmere ne mikwano gye.

Ebigambo bya Full Figure ku NTV enkya ya leero mu Pulogulamu Mwasuze Mutya ne Faridah Nakazibwe biraga nti Bobi Wine yalimba ensi bwe yateegeza nti Kawuma yali ddereeva we okumala ebbanga ddene.

Eddoboozi lya Full Figure


READ  Jamaica Prime Minister Michael Holness Endorses Bobi Wine's Coronavirus Sensitizing Song, Advises The World To Use It As A Tool To Confront The Global Pandemic