Kkooti Enkulu eragidde bannamateeka ba abategesi b’ebivulu okuteeka mu buwandike empoza yabwe mu musango gwe bawabira gavumenti nga bagiranga okuyimiriza ebivulu byabwe.

Abategesi b’ebivulu okuli Andrew Mukasa amanyiddwa ennyo nga Bajjo Events wamu ne Abby Musinguzi amanyiddwa ennyo nga Abitex, baloopa gavumenti n’ebitongole byayo eby’okwerinda olw’okulinyanga eggere mu bivulu by’omubaka we Kyadondo East mu Palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa ennyo nga Bobi Wine.

Mu musango ogwo, Bajjo ne Abitex baagala Gavumenti okubasasula obutitimbe bwa ssente ze bafiirwa olwa Poliisi okuyimiriza ebivvulu bya Bobi Wine.

Omulamuzi Lydia Mugambe alagidde munnamateeka wa Bajjo ne Abitex, Ssalongo Erias Lukwago okuteeka mu buwandike empoza yabwe obutasukka 11, November, 2019 ate oludda oluwawabirwa obutasukka 18, November, 2019.

Omulamuzi Mugambe alangiridde nga 13, December, 2019 omusango okuddamu okuwulirwa.

Lukwago ategeezezza nti, Gavumenti okuyimiriza ebivvuu bya Kyarenga extra kubeera kulinnyirira ddembe lya buntu.
Yayongeddeko nti, ekiseera kye tulimu kya bategesi ba bivvulu nga ssinga kkooti teyanguya kuwa nsala yaayo mu musango guno kya kwongera okufiiriza abantu be.
Bajjo ne Abtex ababadde abennyamivu baagambye nti, bo tebaagala kya Pulezidenti Museveni kubaliyiriranga kubanga ebivvulu bye bafiiriddwa bingi nga baagala kkooti esalewo eggoye basobole okugenda mu maaso n’okuteekateeka ebivvulu byabwe.