Ennyumba y’abaana aba Ghetto Kids eri mu  lusuubo kuba essaawa yonna bagenda kugitunda olwa bbanja.

Kigambibwa ennyumba yali etundibwa obukadde 210 ne basasulako obukadde 108 ne basigala nga babanjibwa obukadde 102 kyokka mu kiseera kino ssente zibabuze ate ekiseera ekyabaweebwa kyagwako dda.

Okusinzira ku mikwano gya Dauda Kavuma manejja wa Ghetto Kids, omuyimbi Omumerika French Montana yali yabawaako obukadde 108 ng’asuubiza okumalayo ssente mu bbanga ttono kyokka mu kiseera kino amassimu takyakwata wadde okwanukula obubaka ku ’email’ ate nga aba Ghetto Kids tebalina ssente mu kiseera kino okumalayo ebbanja.