Nga wasigadde ssaawa mbale omuyimbi Rema Namakula okwanjula bba Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde nga 14, November, 2019 e Nabbingo ku lwe Masaka, nate kikakasiddwa nti Rema ayingidde mu byafaayo bya Uganda.

Sabiti ewedde ku Lwokutaano, Rema yakola akabaga okwali mikwano gye, okumwagaliza obufumbo obulungi ‘Introduction shower’ ne musajja we omuggya Dr. Ssebunya.

Wabula abakyala ab’enjawulo abasobodde okwogerako naffe bagambye nti Rema ye mukyala asoose mu byafaayo bya Uganda okutekateeka ‘Introduction shower’ era asobodde okubikula abantu amaaso.

Mungeri y’emu bagambye nti mu Uganda, abantu bangi abalina ssente kyokka Rema wadde talina nnyo ssente, alaze nti ategeera kye bayita omukwano.

Nakamya Stella agambye nti mu nsi yonna buli mukyala yetaaga omusajja alina omukwano wadde talina nnyo ssente era Eddy Kenzo okulemwa okulaga Rema omukwano y’emu ku nsonga lwaki yamusuddewo.

Nakamya era agambye nti wadde Hamzah akubye Rema embaga, tekimala alina okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’amaka n’okusingira ddala ensonga z’omu kisenge.

Ate Hajjati Hamidah mu katale k’e Ggaba asabye Gavumenti okusiima Rema kuba asobodde okuteekawo ekipya mu Uganda nti abakyala bagwanidde okubakolera ‘Introduction shower’ kuba kiyamba okunyikiza omukwano.